Deuteronomy 14:22-29

Ebiragiro ku Kitundu Ekimu eky’Ekkumi

22 aBuli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi. 23 bOnoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo. 24Naye Mukama ng’akuwadde omukisa, kyokka ng’ekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala n’ewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu eky’ekkumi okukituusangayo, 25kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gw’ensimbi. Onoogendanga n’ensimbi ezo ng’ozinywezezza mu mukono gwo mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. 26 cEnsimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka. 27 dNaye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe.

28 eBuli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo. 29 fKale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.

Copyright information for LugEEEE